Proverbs 22:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusiru buba buzaale mu mwana, naye akaggo k'okugunjula kalibugobera wala ne w'ali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusirusiru busibiddwa ku mutima gw’omwana omuto, naye omuggo ogukangavvula gulimuwonyeza ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kya butonde omwana omuto okukola eby'obusirusiru; Naye okubonerezebwa, kubimuggyamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kya butonde omwana omuto okukola ebitali bya magezi; naye okubonerezebwa, kubimuggyamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obusirusiru busibibwa mu mutima gw'omwana omuto; Naye omuggo ogukangavvula gulibugobera wala okuva gy'ali.