Proverbs 22:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Onyigiriza omwavu? Ajja kweyongera bwavu; Owa omugagga? Ajja kwavuwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu atulugunya abaavu ne yeeyongera okugaggawala, n’oyo agabira omugagga awa abagagga enguzi, enkomerero ya bombi bwavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Anyigiriza omwavu okwongera ku magoba ge, N'oyo agabira omugagga, tebalirema kwavuwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anyigiriza omwavu, ye yeegaggawaze, n'oyo agabira abagagga ebirabo, tebalirema kwavuwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ajooga omwavu okwongera ku magoba ge, N'oyo agabira omugagga batuuka mu kwetaaga bwetaazi.