Proverbs 22:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugagga n'omwavu bafaanana; bonna Omukama ye yabakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abagagga n’abaavu balina kimu ekibagatta, Mukama ye Mutonzi waabwe bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omugagga n'omwavu balina ekibagatta, Ye Mukama, bonna eyabatonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omugagga n'omwavu, balina ekibagatta: Ye Mukama, bonna eyabatonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omugagga n'omwavu baalabagana: Mukama ye yabatonda bonna.