Proverbs 22:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu omwegendereza alaba akabi ne yeewogoma, naye omubuyabuya agenda bugenzi, ne yettattana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu omutegeevu bw’alaba akabi yeekweka, naye abatalina magezi bagenda bugenzi mu maaso ne balumizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu omutegeevu alaba akabi nga kajja, n'akeewala; Naye abatalina magezi bagenda bugenzi ne bakagwamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu omutegeevu alaba akabi nga kajja, n'akeewala; naye abatalina magezi, bagenda bugenzi ne bakagwamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu omutegeevu alaba akabi ne yeekweka: Naye abatalina magezi bayita buyisi ne bafiirwa.