Proverbs 22:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Empeera y'obwetoowaze n'okutya Omukama, bugagga, kitiibwa na bulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu y’empeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obugagga n'ekitiibwa n'obulamu Ye mpeera ey'okwetoowazanga n'okutyanga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abeetoowaza n'abassaamu Mukama ekitiibwa, bafuna obugagga n'ekitiibwa, era n'obuwangaazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obugagga n'ekitiibwa n'obulamu Ye mpeera ey'okwetoowazanga n'okutyanga Mukama.