Proverbs 22:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaggwa n'ebitimba bijjudde ekkubo ly'omubi; akuuma omwoyo gwe agabeera wala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaggwa n’emitego biri mu kkubo ly’omubambaavu; naye oyo akuuma emmeeme ye anaabyewalanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaggwa n'emitego, biri mu kkubo ery'omubambaavu: Ayagala okukuuma obulamu bwe, abyewala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaggwa n'emitego, biri mu kkubo ly'ababi. Ayagala okukuuma obulamu bwe, abyewala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amaggwa n'ebyambika biri mu kkubo ery'omubambaavu: Akuuma emmeeme ye alibibeera wala.