Proverbs 22:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwana mugunjule mu kkubo erimusaanira, ng'akuze talirivaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu, ne bw’alikula talirivaamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, Awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yigiriza omwana wo, nga bw'asaanye okweyisa mu bulamu bwe; ekyo talikivaako ne mu bukadde bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, Awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.