Proverbs 23:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Teweekooyanga ng'onoonya obugagga; baamu amagezi weefuge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Teweemalangako mirembe ng’oyaayaanira obugagga; weefuge obeere mukkakkamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Teweekooyanga ng'okolerera obugagga, Beeranga mugezi olemenga okwetawaanya ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kukolereranga obugagga, beeranga mugezi olemenga kwetawaanya ekiyitiridde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Teweekooyanga okuba omugagga; Vanga ku magezi go ggwe.