Proverbs 24:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'onoogamba nti: “Kino tetwakimanyaako,” oyo ageza emitima talikiwulira? Oyo akuuma obulamu bwo takimanyi? Omuntu talimuweera ng'agerera ku bikolwa bye?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ogambanga nti, “Laba kino twali tetukimanyi,” oyo akebera emitima aba talaba? Oyo akuuma obulamu bwo takimanyi? Talisasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'onooyogeranga nti, “Ekyo ssaakitegeerako.” Oyo apima ekiri mu mutima takulaba? Oyo akuuma emmeeme yo takumanyi? Era talisasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyinza okugamba nti: “Ekyo saakitegeerako.” Oyo apima ekiri mu mutima takulaba? Oyo akuuma obulamu bwo akumanyi, era alikusasula, okusinziira ku by'okola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'onooyogeranga nti Laba, tetwamanya kino: Oyo apima emitima takirowooza? N'oyo akuuma emmeeme yo takimaayi? Era talisasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli?