Proverbs 24:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Manya nti n'amagezi bwe gawoomera omwoyo gwo; bw'ogaggukako, olwo wabaawo essuubi, ate essuubi lyo teriba alikomya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era manya nti amagezi gawoomera emmeeme yo, bw’onoogafuna onoobeera n’essuubi mu bulamu obw’omu maaso, n’essuubi lyo teririkoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Manya nti n'amagezi bwe gatyo bwe gawoomera obulamu bwo. Bw'ogafuna, oliba bulungi gye bujja, By'osuubira birituukirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
manya nti n'amagezi bwe gatyo bwe gawoomera obulamu bwo. Bw'ogafuna, oliba bulungi gye bujja, by'osuubira birituukirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onoomanyanga ng'amagezi gawoomera bwe gatyo emmeeme yo: Oba ng'ogalabye, awo walibaawo empeera, N'essuubi lyo teririmalibwawo.