Proverbs 24:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Toteeganga nnyumba ya mutuukirivu ng'omubi bw'akola; leka kwaya buwummuliro bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Toteeganga, ng’omunyazi bw’akola ku nnyumba y’omutuukirivu, tonyaganga maka ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Toteegera ku nnyumba ya mutuukirivu, ggwe omuntu omubi; Tonyaga kifo ky'awummuliramu:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weewale okuba ng'abantu ababi: abateegera mu maka g'omulungi, era abateesa okumunyagako amaka ge mw'abeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Toteegera ku nnyumba ya mutuukirivu, ggwe omuntu omubi; Tonyaga kifo ky'awummuliramu: