Proverbs 24:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutuukirivu ne bw'agwa emirundi omusanvu, asitukawo, naye ababi akabenje kabasuula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu omutuukirivu ne bw’agwa emirundi omusanvu, addamu n’ayimuka, naye abakozi b’ebibi basuulibwa mu mitawaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omuntu omutuukirivu ne bw'agwa emirundi musanvu ayimukawo nate; Naye ababi obuyinike bubasuula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulungi ne bw'agwa emirundi emingi, ayimukawo buli mulundi; naye omuntu omubi bw'alijjirwa emitawaana, girimuzikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omuntu omutuukirivu agwa emirundi musanvu n'ayimuka nate: Naye ababi obuyinike bubasuula.