Proverbs 24:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga bajja kuzikiriza mangu; ani amanyi abo bombi akabenje ke basobola okuleeta?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga obusungu bwabwe bulibuubuukira ku bajeemu era ani amaanyi akabi akalibatuukako?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga obuyinike bulibajjira nga tebamanyiridde; Era ani amanyi okuzikirira kwabwe bombi bwe kulyenkana?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga emitawaana egiribajjira giribagwako bugwi, era tewali amanyi bwe giryenkana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga obuyinike bwabwe buliyimuka nga tebamanyiridde; Era ani amanyi okuzikirira kwabwe bombi?