Proverbs 24:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Togambanga nti: “Nzija kumukola nga bwe yankoze; Nzija kuwoolera eggwanga ku muntu oyo olw'ebikolwa bye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Toyogeranga nti, “Omuntu oyo ndimukola nga bw’ankoze, era ndimusasuza nga bw’ampisizza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Toyogeranga nti, “Ndimukola nga ye bw'ankoze, Ndisasula omusajja oyo nga bw'ankoze”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Togambanga nti: “Ky'ankoze nange ndikimukola, ndimulumya nga bw'annumizza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Toyogeranga nti Ndimukola nga ye bw'ankoze nze; Ndisasula omusajja oyo ng'omulimu gwe bwe gubadde.