Proverbs 24:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonna yali etuubye amaggwa; wansi ng'emeze kamyu ne bbugwe ow'amayinja ng'ayiise.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale laba, ng’ennimiro eyo ebunye amaggwa, wansi wonna nga wabikkiddwa omuddo, n’olukomera lwayo olw’amayinja nga lugudde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, laba, amaggwa nga galubunye lwonna, Omuddo nga guduumuukidde omwo, N'olukomera lwalwo olw'amayinja nga lugudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
amaggwa nga gaduumuukidde omwo, ng'ebunye omuddo yonna, n'olukomera lwayo olw'amayinja nga lugudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, amaggwa nga galubunye lwonna, Omwennyango nga gubisse ku lwo kungulu, N'olukomera lwalwo olw'amayinja nga lusuuliddwa.