Proverbs 24:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'okumanya amaterekero gaamu gajjuzibwa n'eby'obugagga amakula, ebisanyusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’amagezi ebisenge by’ayo bijjula ebintu ebirungi, eby’obugagga ebitalabikalabika eby’omuwendo omungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'okumanya kwe kujjuza ebisenge Obugagga bwonna obw'omuwendo omungi era obusanyusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
awali okumanya, ebisenge byayo bijjuzibwa ebyobugagga amakula, era ebirungi ebiteŋŋeenya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okumanya kwe kujjuza ebisenge Obugagga bwonna obw'omuwendo omungi era obusanyusa.