Proverbs 24:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga okutabaala kyetaagisa ebibuuliriro, n'okuwangula, abawi b'amagezi abangi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga okulwana olutalo weetaaga okuluŋŋamizibwa, n’okuluwangula, weetaaga abawi b’amagezi bangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okulwana olutalo, kwetaaga okuteesa okw'amagezi; Era awaba abawi b'amagezi abangi, we wabeera emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga okulwana olutalo, kyetaagisa okukola entegeka ez'ekikugu; era awaba abawi b'amagezi abangi, we wabeera emirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga olirwana olutalo lwo n'okuteesa okw'amagezi: Era mu bateesa ebigambo abangi mwe muli emirembe.