Proverbs 25:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'obunnyogovu bw'omuzira mu budde obw'amakungula, n'omubaka omwesigwa bw'aba ku aba amutumye; azzaamu otwanyi omwoyo gwa mukama we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’obunnyogovu bw’omuzira bwe bubeera mu biseera eby’okukunguliramu, bw’atyo bw’abeera omubaka omwesigwa eri abo abamutuma, aweweeza emmeeme ya bakama be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'empewo eya serugi bw'ebeera mu biro eby'okukunguliramu, Omubaka omwesigwa bw'abeera bw'atyo eri abo abamutuma; Kubanga aweezaweeza emmeeme ya bakama be,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omubaka omwesigwa, azzaamu amaanyi abaamutuma, ng'amazzi ag'okunywa agannyogoga, bwe gaweweeza abaganywa mu budde obw'ebbugumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'empewo eya serugi bw'ebeera mu biro eby'okukunguliramu, Omubaka omwesigwa bw'abeera bw'atyo eri abo abamutuma; Kubanga aweezaweeza emmeeme ya bakama be,