Proverbs 25:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waakiri okusulanga waggulu mu kalikonda ka kasolya, okusinga okugatta ennyumba n'omukazi omuyombi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okusulanga mu kasonda waggulu ku nnyumba, kisinga okubeera n’omukazi omuyombi mu nnyumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waakiri okubeera mu kasonda waggulu ku nnyumba, N'otaba na mukazi muyombi mu nnyumba engazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waakiri okubeera mu kasonda waggulu ku nnyumba, n'otaba na mukazi muyombi, mu nnyumba awagazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Beeranga waggulu ku nnyumba awafunda, Olemenga okubeera n'omukazi omuyombi mu nnyumba engazi.