Proverbs 25:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si kirungi kunuuna mubisi gwa njuki mungi, yadde okunoonya ekitiibwa kino na kiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Si kirungi kulya mubisi gwa njuki mungi, bwe kityo si kirungi omuntu okwenoonyeza ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwe kitali kirungi okulyanga omubisi gw'enjuki omungi: Bwe kityo bwe kiri, omuntu okunoonya ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga bwe kitali kirungi okulya omubisi gw'enjuki omungi, era bwe kityo bwe kiri, omuntu okunoonya okuwaanibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Si kirungi okulyanga omubisi gw'enjuki omungi: Bwe kityo abantu okunoonya ekitiibwa kyabwe bo si kitiibwa.