Proverbs 25:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eggulu nga bwe lyewanise waggulu n'ensi nga bw'ekka eyo ekkuzimu, n'emitima gya bakabaka bwe giteefumiitirizika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’eggulu bwe lyewanise waggulu ennyo n’ensi bw’ekka ennyo wansi, bwe gityo n’emitima gya bakabaka bwe gitategeerekeka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eggulu nga bwe ligenda ennyo waggulu, n'ensi nga bw'egenda ennyo wansi. Ne kabaka by'alowooza bizibu okumanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka by'alowooza, bizibu okumanya; bitwesudde ng'eggulu mu bbanga, era ng'okukka kw'entobo y'ennyanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eggulu nga bwe ligenda ennyo waggulu, n'ensi nga bw'egenda ennyo wansi. N'omutima gwa bakabaka tegunoonyezeka.