Proverbs 25:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Teweejaakanga mu maaso ga kabaka, oba okweteeka abakungu we babeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Teweekuzanga mu maaso ga kabaka, wadde okwewa ekifo mu bantu ab’ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Teweekuza mu maaso ga kabaka, Era teweeteekanga mu kifo ky'abakulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Teweekuzanga mu maaso ga kabaka, era teweeteekanga mu kifo kya bakulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Teweekuza mu maaso ga kabaka, So toyimiriranga mu kifo eky'abakulu: