Proverbs 25:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaaso go kye galabyeko tokireetanga mangu mu mbuga, kale oluvannyuma olikola otya nga munno akuswazizza?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaaso go bye galabye tobyanguyirizanga kubireeta mu mbuga, kubanga oluvannyuma onookola otya munno bw’anaakuswaza?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Toyanguyirizanga kuwaaba, Ku nkomerero oyinza okubulwa eky'okwogera, Munno ng'akuswazizza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
toyanguwanga kubiraalaasa, balemenga kubikutuuzaamu n'obulwa eky'okukola!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tofulumanga mangu okuwakana, Olemenga okubulwa ku nkomerero by'oba okola, Munno ng'akuswazizza.