Proverbs 26:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'oluggi bwe lwewuubira ku ppata zaalwo, n'omunafu bwe yeekyusa mu buliri bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’oluggi bwe lukyukira ku ppata zaalwo, bw’atyo omugayaavu bw’akyukira ku kitanda kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'oluggi bwe lukyukira ku ppata zaalwo, Omugayaavu bw'akyukira bw'atyo ku kitanda kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omugayaavu yeekyusiza ku kitanda kye, ng'oluggi bwe lwekyusiza ku ppata zaalwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya; Okuguzza nate ku kamwa ke kumukooyesa.