Proverbs 26:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'enkazaluggya bw'ebuukabuuka n'akataayi bwe keetawula, n'ekikolimo ekitalina nsonga bwe kibulwa gwe kikkako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’enkazaluggya ewabye, ng’akataayi akabuukabuuka, ekikolimo ekitasaanidde tekibaako kye kikola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'enkazaluggya mu kuwaba kwayo, era ng'akataayi mu kubuuka kwako, Bwe kityo n'ekikolimo eky'obwereere tekiggwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebikolimo by'oteegwanyizza, tebikukwata. Biba nga nkazaluggya n'akataayi, ezimala gabuukabuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'enkazaluggya mu kuwaba kwayo, era ng'akataayi mu kubuuka kwako, Bwe kityo n'ekikolimo eky'obwereere tekiggwa.