Proverbs 26:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusiru omuddangamu ng'ogerera ku busiru bwe, sikulwa ng'alowooza nti mugezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusirusiru omuddangamu ng’obusirusiru bwe, bwe buli, si kulwa nga yeerowooza nti mugezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oddangamu omusiru ng'obusirusiru bwe bwe buli, Alemenga okulowooza nti wa magezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula omusiru omuddangamu nga bw'asaanidde, ategeere ekibuuzo kye bwe kitabadde kya magezi nga bw'alowooza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oddangamu omusirusiru ng'obusirusiru bwe bwe buli, Alemenga okuba ow'amagezi mu kulowooza kwe ye.