Proverbs 27:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukwano gwo ne mukwano gwa kitaawo tobaabuliranga; ku lunaku ng'ogudde mu kacwano, teweeyunanga wa muganda wo; omuliraano ogw'okumpi gukira oluganda olw'ewala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukwano gwo ne mukwano gwa kitaawo tobaabuuliranga, olemenga okutawaana okuswala ewa muganda wo ng’ogudde mu mitawaana. Muliraanwa wo akira muganda wo akuli ewala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukwano gwo ggwe ne mukwano gwa kitaawo tobaabuliranga; So togendanga mu nnyumba ya muganda wo ku lunaku kw'olabira obuyinike: Muliraanwa wo akuli okumpi akira ow'oluganda ali ewala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Toyabuliranga mukwano gwo, wadde mukwano gwa kitaawo. Togendanga wa muganda wo ng'ofunye ekizibu. Muliraanwa akuli okumpi, akira owooluganda ali ewala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukwano gwo ggwe ne mukwano gwa kitaawo tobaabuliranga; So togendanga mu nnyumba ya muganda wo ku lunaku kw'olabira obuyinike: Muliraanwa wo akuli okumpi akira ow'oluganda ali ewala.