Proverbs 27:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwana wange, beera mugezi, osanyuse omutima gwange, ndyoke mbeeko bye nnyanukula anvuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Beeranga n’amagezi mwana wange, osanyusenga omutima gwange, ndyoke nyanukule oyo yenna ansekerera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwana wange, beeranga n'amagezi onsanyusenga; Ndyokenga nfune kye nziramu oyo anvuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwana wange, beeranga wa magezi, onsanyusenga; olwo buli ananvumanga, ndyokenga nfune kye mmuddamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwana wange, beeranga n'amagezi osanyusenga omutima gwange. Ndyokenga nziremu oyo anvuma.