Proverbs 27:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu omwegendereza alaba akabi ne yeewogoma, naye omubuyabuya agenda bugenzi, ne yettattana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu omutegeevu alaba akabenje ne yeekweka, naye abatalina magezi batambula butambuzi ne bagwa mu kabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu omutegeevu alaba akabi nga kajja n'akeewala; Naye atalina magezi, akatambaala, ate neyejjusa oluvannyuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu omwegendereza, alaba akabi nga kajja n'akeewala; naye oyo atalowooza, akatambaala, ne yejjusa luvannyuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu omutegeevu alaba obubi ne yeekweka: Naye abatalina magezi bayitawo buyisi ne bafiirwa.