Proverbs 27:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alabirira omukunyu aligulyako ebibala, n'akuuma mukama we aliweebwa ekitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli alabirira omutiini alirya ku bibala byagwo, n’oyo aweereza mukama we alissibwamu ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli alabirira omutiini anaalyanga ku bibala byagwo; N'oyo aweereza mukama we, anaassibwangamu ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alabirira omuti ogw'ebibala, anaalyanga ku bibala byagwo; n'oyo aweereza mukama we, anassibwangamu ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli alima omutiini anaalyanga ku bibala byagwo; N'oyo aweereza mukama we anassibwangamu ekitiibwa.