Proverbs 27:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'amagombe n'okuzikirira bwe bitakkuta, n'amaaso g'omuntu bwe gatamatira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amagombe ne ggeyeena tebikkuta, n’amaaso g’abantu nago bwe gatyo tegakkuta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amagombe n'okuzikirira tebikkutanga ennaku zonna; N'amaaso g'abantu tegakkutanga ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ng'emagombe bwe watajjula baafa, n'amaaso g'abantu, bwe gatakkuta kulaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amagombe n'okuzikirira tebikkutanga ennaku zonna; N'amaaso g'abantu tegakkutanga ennaku zonna.