Proverbs 27:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olwo obwana bw'endiga bulikuwa ekyokwambala, n'embuzi ennume zirikuwa ezigula obutaka;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abaana b’endiga balikuwa engoye ez’okwambala, n’embuzi ziritundibwa ne zivaamu ensimbi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lw'olyekolera eby'okwambala, mu byoya by'endiga zo; N'otunda ne ku mbuzi zo, ne weegulira ebibanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
lw'olyekolera ebyokwambala, mu byoya by'endiga zo; n'otunda ne ku mbuzi zo, ne weegulira ebibanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana b'endiga baba ba kukwambaza, N'embuzi gwe muwendo gw'ennimiro: