Proverbs 28:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alaza abatuufu mu kkubo ebbi, yennyini aligwa mu bunnya bwe, naye abataliiko musango balifuna omusera gw'obusika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli akyamya abatuukirivu mu kkubo ebbi, aligwa mu katego ke ye, naye abatuukirivu balisikira ebirungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli akyamya abagolokofu mu kkubo ebbi Aligwa ye yennyini mu bunnya bwe ye: Naye abo abaatuukirira balisikira ebirungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akyamya omulungi n'amukozesa ekibi, yennyini aligwa mu bunnya bw'asimye; naye abatalina musango, balifuna ebirungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli akyamya abagolokofu mu kkubo ebbi Aligwa ye yennyini mu bunnya bwe ye: Naye abo abatuukirira balisikira ebirungi.