Proverbs 28:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukulembeze abulamu okutegeera atulugunya nnyo, naye akyawa obulyake alyongera ku nnaku z'obulamu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omufuzi nantagambwako tafuga na bwenkanya, naye oyo akyawa amagoba agafuniddwa mu bukyamu alibeera n’essanyu ery’obulamu obuwangaazi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omufuzi atalina kutegeera aba mukambwe nnyo; Naye oyo akyawa obulyake, anaalwanga ku bufuzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omufuzi atafa ku bantu, aba mukambwe; naye oyo akyawa obulyake, anaalwanga ku bufuzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omulangira atalina kutegeera aba mujoozi nnyo era: Naye oyo akyawa omululu aliwangaala ennaku nnyingi.