Proverbs 28:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Avunaanibwa okuyiwa omusaayi gw'omulala, aliba mudduse obulamu bwe bwonna; wabulewo amuyamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu alumirizibwa olw’okutta munne, alibeera mu kutegana okutuusa okufa, tewabanga n’omu amuyamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu omutemu Asaana kubungeeta okutuusa lwalifa; era walemenga kubaawo muntu amuyamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu bw'azza ogw'obutemu, asaana abenga mubungeese okutuusa lw'alifa, era walemenga kubaawo amuyamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu eyeebinise omusaayi ogwa buli muntu yenna Aliddukira mu bunnya; tewabangawo muntu amuziyiza.