Proverbs 28:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Atambulira mu bulungi aliwona, naye akwata amakubo amakyamu aligwa mangu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu atambulira mu bugolokofu alinunulibwa talibeerako kabi, naye oyo ow’amakubo amabi aligwa mbagirawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli atambulira mu bugolokofu aliwonyezebwa; Naye ow'amakubo amakyamu aligwa mangu ago.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akolera ku bwesimbu, aliba bulungi; naye atali mwenkanya, alimenyekawo mangu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli atambula n'obugolokofu aliwonyezebwa: Naye ow'amakubo amakyamu aligwa mangu ago.