Proverbs 28:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi bw'eba mu bujeemu, eba n'abafuzi bangi; naye omutegeevu alimu okumanya azzaawo obutebenkevu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eggwanga bwe lijeema, liba n’abafuzi bangi, naye olw’omuntu alina okutegeera n’okumanya obutebenkevu budda nate mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi etegwamu butabanguko ebaamu abafuzi bangi; Naye bwe beeramu abantu abalina okutegeera n'okumanya etebenkera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eggwanga omuba obutabanguko liba n'abafuzi bangi; naye bwe lifuna omufuzi ow'amagezi era omutegeevu, litebenkera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'okusobya kw'ensi bakabaka baamu baba bangi: Naye olw'abantu abalina okutegeera n'okumanya okunywera kwayo kulyongerwako.