Proverbs 28:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okugwa olubege si kirungi, naye olw'akatundu k'omugaati kati omuntu asobya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuttira abantu ku liiso ng’osala emisango si kirungi, naye ate olw’okunoonya akookulya omuntu ayinza okuzza omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okusosola mu bantu si kulungi: Naye abantu bakola ebibi olw'okufuna ke banaalya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okusosola mu bantu, kibi; naye abantu bakola ebibi olw'okufuna ke banaalya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okusosola mu bantu si kulungi: Newakubadde omuntu okusobya olw'akamere obumere.