Proverbs 28:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuganiriza awaalirira obugagga, n'atamanya nti obwavu bujja kumugwira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja omukodo yeegomba okugaggawala, naye nga tamanyi nti obwavu bumulindiridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alina eriiso ebbi abuguutanira okugaggawala, Sso n'atamanya nti obwetaavu bulimutuukako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu eyeefaako yekka, abuguutanira okwegaggawaza, sso n'atamanya nti obwetaavu bulimutuukako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alina eriiso ebbi ayanguwa okugoberera obugagga, So tamanyi ng'okwetaaga kulimutuukako.