Proverbs 28:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaabulira etteeka bawaanawaana ababi, naye abalikwata babalwanyisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo abava ku mateeka ga Mukama batendereza aboonoonyi, naye abo abagakuuma babawakanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo abatakwata mateeka bawagira ababi: Naye abo abagakwata babalwanyisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Atassaamu mateeka kitiibwa, awagira ababi; naye oyo agakwata, abalwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo abaleka amateeka batendereza ababi: Naye abo abakwata amateeka bayomba nabo.