Proverbs 28:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ababi tebategeera butuufu; naye abanoonya Omukama babutegeera mu bujjuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu abakozi b’ebibi tebategeera bwenkanya, naye abo abanoonya Mukama babutegeerera ddala bulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ababi tebategeera musango: Naye abo abanoonya Mukama bategeera byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ababi, tebategeera bwenkanya; naye abassaamu Mukama ekitiibwa, babutegeera bulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ababi tebategeera musango: Naye abo abanoonya Mukama bategeera byonna.