Proverbs 28:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waakiri omwavu atambulira mu bulungi bwe, okusinga omugagga ow'amakubo amabi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu, asinga omugagga ow’amakubo amakyamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwavu atatambulira mu bukuusa, Akira obulungi ow'amakubo amakyamu, newakubadde nga mugagga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuba omwavu omwesimbu, kusinga okuba omugagga omukumpanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwavu atambulira mu butayonoona bwe Akira obulungi ow'amakubo amakyamu, newakubadde nga mugagga.