Proverbs 28:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ow'ebintu gwe byalira olw'okuliika n'okuseera, akuŋŋaanyiza mulala alijuna abaavu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayongera ku bugagga bwe mu bukumpanya, abukuŋŋaanyiza omulala anaayinza okuba ow’ekisa eri abaavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyeegaggawaza ng'aseera afune amagoba, Akuŋŋaanyiza oyo asaasira abaavu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyeegaggawaza ng'aseera afune amagoba, obugagga bwe abukuŋŋaanyiza oyo, akwatirwa ekisa abaavu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ayongera ku bintu bye olw'amagoba n'ebisalirwa Akuŋŋaanyiza oyo asaasira abaavu.