Proverbs 29:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwavu n'omuntu anyigiriza bafaanana: Omukama y'atangaaza amaaso ga bombi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwavu n’oyo amubonyaabonya balina ekibagatta: Mukama bombi ye yabawa amaaso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwavu n'omujoozi balina ekibagatta: Bombi Mukama y'abawa ekitangaala ne balaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwavu, n'oyo amunyigiriza, balina ekibagatta: bombi Mukama ye abawa ekitangaala ne balaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwavu n'omujoozi balabagana: Mukama ayakira amaaso gaabwe bombi.