Proverbs 29:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuggo n'okunenya bireeta amagezi, naye omwana atagambwako aswaza nnyina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akaggo akakangavvula, kaleeta amagezi, naye omwana alekeddwa awo, aswaza nnyina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuggo n'okunenya bireeta amagezi: Naye omwana alekebwa awo, aswaza nnyina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okugolola n'okukangavvula, biyigiriza; naye omwana alekerwa awo, aswaza nnyina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuggo n'okunenya bireeta amagezi: Naye omwana gwe balekera awo akwasa nnyina ensonyi.