Proverbs 29:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe wataba bulanzi abantu balaluka, naye beesiimye abakwata ebiragiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awatali kwolesebwa abantu tebaba beegendereza, naye wa mukisa oyo akuuma amateeka ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awatali kwolesebwa, abantu tebaba na kuziyizibwa: Naye akwata amateeka alina omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awatali kuluŋŋamizibwa Katonda, abantu bacankalana; naye akwata Amateeka, wa mukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awatali kwolesebwa, abantu basuula okuziyizibwa: Naye akwata amateeka alina omukisa.