Proverbs 29:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuweereza tagololwa na bigambo bugambo; ne bw'akitegeera, takifaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuweereza tayinza kubuulirirwa na bigambo byokka; ne bw’aba ategedde tafaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuddu takangavvulwa na bigambo bugambo, Kubanga ne bw'ategeera talissaayo mwoyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuddu takangavvulwa na bigambo bugambo, kubanga ne bw'ategeera, tassaayo mwoyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuddu taganya kubuulirirwa lwa bigambo: Kubanga ne bw'ategeera talissaayo mwoyo.