Proverbs 29:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyeetaba n'ababbi yeekolera kukyayibwa; awulira bye bamuvumirira naye tayogera kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli assa ekimu n’omubbi akyawa obulamu bwe ye, era ne bw’alayizibwa tasaanira kubaako ky’ayogera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli assa ekimu n'omubi akyawa obulamu bwe ye: Ne bwawulira ekikolimo, takwekula mazima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Assa ekimu n'omubbi, akyawa bulamu bwe; ne bwe bamulayiza, takwekula mazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli assa ekimu n'omubi akyawa obulamu bwe ye: Awulira okulayizibwa n'atabaako ky'ayogera.