Proverbs 29:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okutya omuntu guba mutego, naye eyeesiga Omukama akuumibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okutya omuntu kuleeta ekyambika, naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo atya obuti abantu, yeesuula mu kabi; Naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo atya obutyi abantu, yeesuula mu kabi; naye eyeesiga Mukama, aba n'emirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okutya abantu kuleeta ekyambika: Naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.