Proverbs 29:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka ensi aginyweza mu bwenkanya, naye alulunkanira okuvujjirirwa agizikiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka afuga n’obwenkanya, abantu be baba mu butebenkevu, naye oyo alulunkanira enguzi, ensi agyonoona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka anyweza ensi lwa bwenkanya; Naye asaba enguzi agisuula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka bw'alumirwa obwenkanya, ensi ye etereera; naye bw'aba asaba enguzi, ensi agittattana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka anyweza ensi lwa kusala misango: Naye asolooza enguzi agisuula.